Hebrews 10:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Eno ye ndagaano gye ndikuba n'abo oluvannyuma lw'ennaku ezo, Omukama y'agamba; amateeka gange nzija kugassa ku mitima gyabwe, ngawandiike mu myoyo gyabwe,” agattako nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eno y’endagaano gye ndikola nabo, oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama. Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe, era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Eno ye ndagaano gye ndiragaana nabo Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, Era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika;” n'alyoka ayogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Eno ye ndagaano gye ndikola nabo, ennaku ezo bwe zirituuka. Bw'atyo Mukama bw'ayogera. Nditeeka amateeka gange mu mitima gyabwe, era ndigawandiika mu magezi gaabwe.” Ate n'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eno ye ndagaano gye ndiragaana nabo Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, Era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika; n'alyoka ayogera nti