Hebrews 10:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa bwe guli, singa tebyalekera awo dda okuweerezebwa? Anti ng'abaweereza bamaze okutukuzibwa omulundi gumu, tebandizzeeyo kumanya kibi mu mwoyo gwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayo? Kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu, tebandibadde na kwetegeerako bibi nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa gaali gasobola okubatukuliza ddala, ebitambiro byandibadde tebikyaweebwayo, kubanga ababiwaayo bandibadde batukuliziddwa ddala omulundi gumu, nga tebakyemanyiiko kibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayo kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu tebandibadde na kwetegeerako bibi nate.