Hebrews 10:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuleme kugayaalirira kukuŋŋaana, ng'abamu bwe bamanyidde okukola, wabula tugumyaŋŋane, naddala kati, anti mulaba olunaku lujja lusembera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng'abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira, era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba Olunaku luli nga lunaatera okutuuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuleme kugayaaliriranga nkuŋŋaana z'abagoberezi ba Kristo, ng'abamu bwe bakola. Naye buli omu agumye munne, naddala nga bwe mulaba nti Olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng'abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.