Hebrews 10:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula okulindirira mu kutya okulamulibwa n'omuliro ogw'obusungu ogw'okusenkenya abalabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
wabula okulindirira n'okutya okusalirwa omusango, n'omuliro ogw'amaanyi ogugenda okwokya abalabe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiba kisigadde, kwe kuba mu kutya, nga tulindirira okusalirwa omusango, era n'obukambwe bw'omuliro ogugenda okwokya abalabe ba Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
wabula okulindirira n'obuti omusango, n'obukambwe obw'omuliro ogugenda okwokya abalabe.