Hebrews 10:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluusi nga muvumibwa mu lujjudde n'okubalabya ennaku, olulala nga mubeera wamu n'abo abayisibwa batyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluusi mwafuuka ekyerolerwa n'emuvumibwa, n'emuyigganyizibwa, olulala ne mussa kimu n'abo abaabonaabona nga mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirundi egimu mwavumibwa era ne mubonyaabonyezebwa mu lwatu, emirundi emirala ne mulumirwa wamu n'abo abaakolebwa bwe batyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olulala bwe mwafuuka ekyerolerwa olw'ebivume n'okulaba ennaku; olulala, bwe mwassa ekimu n'abo abaakolerwa ebyo.