Hebrews 10:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kristu yennyini ng'ajja mu nsi kyeyava agamba nti: “Ebitambiro n'ebitone tewabyagala, sso nze wantegekera omubiri;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Kristo bwe yali ng’ajja mu nsi kyeyava agamba nti, “Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala. Naye wanteekerateekera omubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kristo ng'ajja mu nsi, kye yava ayogera nti, “Ssaddaaka n'ebiweebwayo tewabyagala, Naye wanteekerateekera omubiri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kristo ng'ajja mu nsi, kyeyava agamba Katonda nti: “Ebitambiro n'ebiweebwayo tewabyagala, naye wanteekerateekera omubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'ajja mu nsi, kyava ayogera nti Ssaddaaka n'ebiweebwayo tewabyagala, Naye wanteekerateekera omubiri;