Hebrews 10:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze kwe kugamba nti: ‘Nzuuno nzize, ayi Katonda, okukola ggwe ky'oyagala,’ nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw'ekitabo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa: Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndyoka njogera nti,‘ Laba, nzize okukola by'oyagala, ayi Katonda,’ Nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw'ekitabo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyennava ŋŋamba nti: Nzuuno. Nzize okukola by'oyagala, ayi Katonda, ng'ekyawandiikibwa bwe kinjogerako mu kitabo ky'Amateeka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndyoka njogera nti Laba nzize (Mu muzingo gw'ekitabo ekyampandiikwako) Okukola by'oyagala, ai Katonda.