Hebrews 11:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yali alindirira ekibuga eky'omusingi omugumu Katonda yennyini kye yabanga n'azimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu yali alindirira ekibuga kiri ekirina omusingi, Katonda kye yategeka era n’azimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga yalindirira ekibuga kiri ekirina emisingi, Katonda kye yakuba era kye yazimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu yalindirira ekibuga Katonda kye yategeka, era kye yazimba, ekirina emisingi emigumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yalindirira ekibuga kiri ekirina emisingi, Katonda kye yakuba kye yazimba.