Hebrews 11:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera ekyo, mu muntu omu eyali kyenkana ng'afudde, ne musibukamu abali ng'emmunyeenye z'eggulu mu bungi, ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja ogutabalika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe kityo bangi ne bava mu muntu omu eyali omukadde ennyo ne baba bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era ng’omusenyu oguli ku nnyanja ogutabalika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'olwekyo okuva mu muntu omu eyali Afaanana ng'afudde, mwe mwava abantu abangi ng'emmunyeenye ez'omu ggulu obungi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja ogutabalika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo omuntu oyo omu Aburahamu, newaakubadde yali ng'afudde, yasibukamu abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, ogutabalika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era kyebaava bazaalibwa oyo omu era eyali ng'afudde, abali ng'emmunyeenye ez'omu ggulu obungi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja ogutabalika.