Hebrews 11:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano bonna baafiira mu kukkiriza nga tebafunye byali bisuubiziddwa, wabula nga baabirengerera wala, ne babyaniriza, nga bakkiriza nti ku nsi bagwira, bayise.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti bibalindiridde, kubanga baategeera nti ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonna baafiira mu kukkiriza, nga tebaweereddwa byabasuubizibwa, naye nga babirengerera wala, era nga babiramusa, era nga baatula nga bagenyi era abatambuze ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna baafiira mu kukkiriza, nga tebannafuna ebyo Katonda bye yasuubiza, wabula nga babirengerera wala, ne babyaniriza, nga bakakasa nti bagenyi era bayise ku nsi kuno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna baafiiira mu kukkiriza, nga tebaweereddwa ebyasuubizibwa, naye nga babirengerera wala, era nga babiramusa, era nga baatula nga bagenyi era abatambuze ku nsi.