Hebrews 11:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekituufu kye kino, nti bo baayagala eri mu ggulu esinga obulungi. Ne Katonda kyava taswala kweyita Katonda waabwe, anti yabategekera ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano beegomba ensi esingako, ye y’omu ggulu. Katonda kyava aba Katonda waabwe, nga tekimuswaza kuyitibwa bw’atyo, kubanga abateekeddeteekedde ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano beegomba ensi esinga obulungi, ye y'omu ggulu, Katonda kyava alema okukwatibwa ensonyi ku lw'abo, okuyitibwanga Katonda waabwe: kubanga yabateekerateekera ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano beegomba obutaka obusinga obulungi, bwe bw'omu ggulu. Katonda kyava takwatibwa nsonyi kuyitibwa Katonda waabwe, kubanga yabateekerateekera ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano beegomba ensi esinga obulungi, ye y'omu ggulu; Katonda kyava alema okukwatibwa ensonyi ku lw'abo, okuyitibwanga Katonda waabwe: kubanga yabateekerateekera ekibuga.