Hebrews 11:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu luli lwe yagezebwa, olw'okukkiriza kyeyava atambira Yizaake; oyo eyali asuubiziddwa yeevaamu okutambira omwana omu yekka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yagezesebwa, n’awaayo Isaaka omwana we omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okukkiriza Ibulayimu, bwe yagezesebwa, yawaayo Isaaka omwana we eyazaalibwa omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu, Katonda gwe yali asuubizza, bwe yagezebwa, okukkiriza kwe kwamusobozesa okuwaayo Yisaaka, omwana we omu yekka, abe ekitambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okukkiriza Ibulayimu; bwe yakemebwa, n'awaayo Isaaka; era eyaweebwa ebyasuubizibwa n'essanyu yali agenda okuwaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka;