Hebrews 11:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muli yali akakasa nti Katonda ayinza okuzuukiza omuntu mu bafu. Awo nno ng'otunuulidde amakulu agali mu kino, Yizaake yaddamu n'amufuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
gwe yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n’ayaniriza Isaaka, nga Isaaka ali ng’azuukidde mu bafu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n'ayaniriza Isaaka ng'alinga azuukidde mu bafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu yamanya nti Katonda ayinza okuzuukiza abafu. Ne Katonda kyeyava amuddiza Yisaaka, ng'ali ng'avudde mu bafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe yalowooza nga Katonda ayinza okuzuukiza mu bafu era; era mwe yamuweerwa mu kifaananyi.