Hebrews 11:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okukkiriza, Yozefu ng'afa, kyeyava ayogera ku Kuva kw'abaana ba Yisirayeli mu Misiri n'awa n'ebiragiro ku magumba ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu bwe yali anaatera okufa, olw’okukkiriza yayogera ku kuva kw’abaana ba Isirayiri mu Misiri, era n’abalagira n’okutwala amagumba ge nga baddayo ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okukkiriza Yusufu, bwe yali ng'anaatera okufa, n'ayogera ku kuvaayo kw'abaana ba Isiraeri; n'alagira ku by'amagumba ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu bwe yali ng'anaatera okufa, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okwogera nti Abayisirayeli baliva mu Misiri, era n'alagira ebirikolebwa ku magumba ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okukkiriza Yusufu, bwe yali ng'anaatera okufa, n'ayogera ku kuvaayo kw'abaana ba Isiraeri; n'alagira eby'amagumba ge.