Hebrews 11:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okukkiriza, Musa kyeyava akwekebwa bazadde be emyezi esatu ng'amaze okuzaalibwa, nga balaba mubalagavu, ne batatya kiragiro kya kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okukkiriza Musa, bwe yazaalibwa, abazadde be ne bamukwekera emyezi esatu, kubanga baamulaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa bwe yazaalibwa, okukkiriza, kwe kwaleetera bazadde be okumukwekera emyezi esatu. Baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kuwakanya kiragiro kya kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okukkiriza Musa, bwe yazaalibwa, abazadde be ne bamukwekera emyezi esatu, kubanga baamulaba nga mulungi; ne batatya kiragiro kya kabaka.