Hebrews 11:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuvumibwa olw'Omusiige yakuyita obugagga obukira enkuluze ya Misiri yonna, kubanga eriiso yali alitadde ku mpeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'alowooza ekivume kya Kristo okuba obugagga obusinga ebintu by'e Misiri: kubanga yali asuubira empeera eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kusingira ddala wala obugagga bw'e Misiri, kubanga yamanya empeera gy'aliweebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'alowooza ekivume kya Kristo okuba obugagga obusinga ebintu by'e Misiri: kubanga yeekaliriza empeera eyo.