Hebrews 11:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okukkiriza kyebaava basomoka Ennyanja Emmyufu kyenkana ng'olukalu; naye Abamisiri bwe baagezaako, ne basaanawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okukkiriza ne bayita mu Nnyanja Emmyufu nga ng'abayita ku lukalu. Abamisiri bwe baagezaako okukola bwe batyo ne basaanyizibwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukkiriza, kwe kwasobozesa Abayisirayeli okuyita mu Nnyanja Emmyufu, ng'abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako, amazzi ne gabasaanyaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okukkiriza ne bayita mu Nnyanja Emmyufu nga ku lukalu: Abamisiri bwe baagezaako okukola bwe batyo ne basaanyizibwawo.