Hebrews 11:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okukkiriza kyetuva tutegeera nti ensi yatondebwa ekigambo kya Katonda, mu bitalabika ne mukolwamu ebirabika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, era ebirabika kye byava bikolebwa nga biggyibwa mu bitalabika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukkiriza, kwe kutusobozesa okutegeera nti ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggyibwa mu bitalabika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, era ekirabika kyekyava kirema okukolebwa okuva mu birabika.