Hebrews 11:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era nkyayongerako ki? N'obudde bumbula okunyumya ku Gidewoni, Baraki, Samusoni, Yefuta, Dawudi, Samweli n'abalanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Njogere ki nate? N’ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, ne ku Baraki, ne Samusooni, ne Yefusa, ne Dawudi, ne Samwiri ne bannabbi abalala,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Njogere ki nate? Kubanga ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidiyooni, Balaki, Samusooni, Yefusa ne ku Dawudi, Samwiri ne bannabbi abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyongereko ki ate? N'obudde bunaanzigwako bwe njogera ku Gidiyoni, Baraki, Samusooni, Yefuta, Dawudi, Samweli, ne ku balanzi. 16:1 Bassek 2:11; 1 Sam 1:1–25:1
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Njogere ki nate? Kubanga ebbanga linanzigwako bwe nnaayogera ku Gidiyooni, Balaki, Samusooni, Yefusa; ku Dawudi ne Samwiri ne bannabbi: