Hebrews 11:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakazi baddamu ne bafuna abaabafaako nga bazuukira. Abalala bakkiriza okubonyaabonyezebwa, ne bagaana okuteebwa, basobole okuzuukira ogwokubiri mu bulamu obusingawo obulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakazi ne baweebwa abafu baabwe nga bazuukidde, n'abalala ne bayigganyizibwa, nga tebaganya kununulibwa, balyoke baweebwe okuzuukira okusinga obulungi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakazi ne baweebwa abantu baabwe abazuukidde. Abantu abalala baabonyaabonyezebwa, ne bagaana okuteebwa, balyoke bazuukire okufuna obulamu obusinga obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakazi ne baweebwa abafu baabwe mu kuzuukira: n'abalala ne bayigganyizibwa, nga tebaganya kununulibwa, balyoke baweebwe okuzuukira okusinga obulungi: