Hebrews 11:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baakubibwa amayinja, ne basalwamu ebitundu bibiri, ne battibwa n'ebitala; baabungeeta nga bali mu maliba ag'endiga n'ag'embuzi, ne bawamma, ne balaba ennaku, ne bayisibwa bubi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n’emisumeeno, ne battibwa n’ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g’endiga n’ag’embuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala, baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi; nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, nga bakolwa obubi
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi, nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, ne bayisibwa bubi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala: baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi; nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, nga bakolwa obubi