Hebrews 11:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okukkiriza, Abeli, - ono yadde nga yafa dda, era akyayogera, - kyeyava aweereza Katonda ekitambiro ekirungi okusinga ekya Kayini, mu kyo n'asiimibwa nti mutuukirivu; Katonda kino n'akikakasa ng'asiima ebitambiro bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okukkiriza Aberi yawaayo Ssaddaaka esinga obulungi eri Katonda okusinga eya Kayini gye yawaayo, era ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Katonda ng’amuweerwa obujulirwa olw’ebirabo bye, era newaakubadde nga Aberi yafa, akyayogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okukkiriza Abiri yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, n'ekimuweesa obutuukirivu, Katonda bwe yakkiriza ebirabo bye, era olw'ekyo newakubadde nga Abiri yafa, naye akyayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukkiriza, kwe kwaleetera Abeli okuwaayo eri Katonda ekitambiro ekirungi okusinga ekya Kayini, ne kikakasa nti Abeeli mutuukirivu, kubanga Katonda yasiima ebirabo bye. Era olw'okukkiriza kwe, newaakubadde yafa, akyayogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okukkiriza Abiri yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, eyamutegeezesa okuba n'obutuukirivu, Katonda bwe yategeereza ku birabo bye: era olw'okwo newakubadde nga yafa akyayogera.