Hebrews 11:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okukkiriza, Enoki kyeyava atwalibwa n'atalaba ku lumbe; teyazuulibwa, kubanga Katonda yamutwala. Yali tannaba kutwalibwa, yasooka kukakasibwa nti yali asanyusa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okukkiriza Enoka yatwalibwa nga taleze ku kufa, n’atalabika kubanga Katonda yamutwala. Bwe yali tannamutwala, yayogera nga Enoka bwe yamusanyusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okukkiriza, Enoka yatwalibwa nga tayise mu kufa n'atalabika kubanga Katonda yamutwala, kubanga bwe yali nga tannamutwala, Katonda yategeeza nga bwe yamusiima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukkiriza, kwe kwaleetera Enoka okutwalibwa eri Katonda, nga tamaze kufa. Era oluvannyuma tewali yamulabako, kubanga Katonda yamutwala. Ekyo kyaba bwe kityo, kubanga bwe yali nga tannatwalibwa, kyakakasibwa nti yasanyusa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okukkiriza, Enoka yatwalibwa obutalaba kufa; n'atalabika kubanga Katonda yamutwala: kubanga bwe yali nga tannatwalibwa yategeezebwa okusumibwa Katonda: