Hebrews 11:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wataba kukkiriza, tekiyinzika kusanyusa Katonda. Oli asembera eri Katonda ateekwa okukkiriza nga Katonda w'ali, era ng'aweera empeera abo abamunoonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era awatali kukkiriza tekiyinzika kusanyusa Katonda, kubanga buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali ayinza kusanyusa Katonda awatali kukkiriza, kubanga ajja eri Katonda, ateekwa okukkiriza nti Katonda waali, era nti agabira empeera abo abamunoonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya.