Hebrews 11:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nowa bwe baamulabula ku ebyo ebyali bitannalabikako, olw'okukkiriza kyeyava alabuka n'akola ekyombo okuwonya amaka ge; olw'ekyo ensi yagisalira omusango okugisinga, n'asikira bw'atyo obutuukirivu obufunibwa olw'okukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, n’atya, era mu kukkiriza n’azimba eryato olw’okulokola ennyumba ye. Bw’atyo n’asalira ensi omusango, ate n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitannalabika, n'atya era mu kukkiriza n'azimba eryato olw'okulokola ennyumba ye, kye yava asalira ensi omusango, n'afuuka omusika w'obutuukirivu obuli mu kukkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Noowa bwe yalabulwa Katonda ku byali bitannalabika, okukkiriza kwe kwamusobozesa okuwulira Katonda, n'azimba eryato okuwonya amaka ge. Bw'atyo yasalira ensi omusango, n'afuna obutuukirivu obuleetebwa okukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitannalabika, n'atya bulungi n'asiba eryato olw'okulokola ennyumba ye; kyeyava asalira ensi omusango, n'afuuka omusika w'obutuukirivu obuli mu kukkiriza.