Hebrews 11:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu olw'okukkiriza kyeyava agonda bwe yayitibwa okulaga mu nsi gye yali agenda okufuna ng'obusika; yamala gagenda nga tamanyi gy'alaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n’agonda, n’alaga mu kifo kye yali agenda okuweebwa ng’omugabo, bw’atyo n’agenda nga ne gy’alaga tamanyiiyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n'awulira n'okugenda n'agenda mu kifo kye yali agenda okuweebwa okuba obusika; bw'atyo n'agenda nga tamanyi gy'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukkiriza, kwe kwaleetera Aburahamu okuwulira Katonda, bwe yamuyita ave ewaabwe alage mu nsi gye yali agenda okuweebwa. Bw'atyo n'agenda nga tamanyi gy'alaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okukkiriza Ibulayimu, bwe yayitibwa, n'awulira n'okugenda n'agenda mu kifo kye yali agenda okuweebwa okuba obusika; n'avaayo nga tamanyi gy'agenda.