Hebrews 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okukkiriza kyeyava abeera mu nsi gye yasuubizibwa, ng'ali ku ggwanga; n'abeera eyo mu weema ne Yizaake ne Yakobo basika banne bwe baali basuubira ekimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne bwe yatuuka mu nsi Katonda gye yamusuubiza, mu nsi gye yali tamanyangako, olw’okukkiriza yasulanga mu weema era lsaaka ne Yakobo nabo bwe baakola, Katonda ng’abasuubizza nga bwe yasuubiza Ibulayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okukkiriza n'abeeranga omugenyi mu nsi eyasuubizibwa, ng'etali yiye, ng'asula mu weema wamu ne Isaaka ne Yakobo, basika banne ab'okusuubizibwa okwo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era okukkiriza, kwe kwamuleetera okubeera mu nsi eyamusuubizibwa, n'agibeeramu ng'eri ng'etali yiye, ng'asula mu weema awamu ne Yisaaka ne Yakobo, nabo Katonda be yasuubiza ekintu kye kimu ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okukkiriza n'abeeranga omugenyi mu nsi eyasuubizibwa, ng'etali yiye, ng'asula mu weema wamu ne Isaaka ne Yakobo, basika banne ab'okusuubizibwa okwo: