Hebrews 12:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weewaawo, okugunjula kwonna bwe kubeera kukolebwa, mulimu ng'okulumwa, si ssanyu; naye oluvannyuma abo ababa bayise mu kubangulwa kuno, kubaleetera ebibala eby'eddembe n'eby'obutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okukakangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku, naye oluvannyuma kubala ebibala eby'emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo, bye bibala eby'obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe tuba tukangavvulwa, mu kiseera ekyo okukangavvulwa kufaanana ng'okutaleeta ssanyu wabula obulumi. Naye oluvannyuma, abo abagunjulwa okukangavvulwa okwo, bafuna eddembe n'obutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukakangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku: naye oluvannyuma kubala ebibala eby'emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo; bye by'obutuukirivu.