Hebrews 12:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugolole amakubo g'ebigere byammwe; ekitundu ekirema kireme kusowokera ddala, wabula kiwone buwonyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ebigere byammwe mubikolere ekkubo eggolokofu, abo ababagoberera newaakubadde nga balema era banafu, baleme okuva mu kkubo eryo, wabula bawonyezebwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era mukubirenga ebigere byammwe amakubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awonenga buwonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutambulirenga mu makubo amagolokofu, awenyera aleme kulemala, wabula awone.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mukubirenga ebigere byammwe ama kubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awonenga buwonyi.