Hebrews 12:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwekkaanye wabulewo afiirwa eneema ya Katonda; wabulewo omulandira gw'obukaawu ogututunuka ne guleeta akabi, bangi ne boonooneka olw'okubeera gwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu afe ku munne waleme kubeerawo n’omu ava mu kisa kya Katonda, era mwekuume ensigo ey’obukyayi ereme okuloka mu mmwe, bangi ne bagwagwawala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mulabe waleme kubaawo omuntu yenna asubwa ekisa kya Katonda, era mwekuume “ekikolo kyonna eky'okukaawa” kiremenga okuloka mu mmwe, okugwagwawaza abangi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwerinde, waleme kubaawo yeefiiriza kisa kya Katonda. Mwerinde, waleme kubaawo bubi busituka mu mmwe, ne bubatabulatabula, era ne bwonoona bangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mutunuulira nnyo walemenga okuba omuntu yenna aweebuuka mu kisa kya Katonda; ekikolo kyonna eky'okukaawa kiremenga okuloka n'okubeeraliikiriza, era ne kigwagwawaza abangi;