Hebrews 12:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nammwe mumanyi ng'oluvannyuma bwe yayagala okusikira omukisa, yagaanibwa, kubanga teyasanga mukisa gwa kweddamu, ne bwe yagunoonya mu maziga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma ne bwe yagezaako okusikira omukisa ogwo, teyasiimibwa, era teyafuna mukisa kwenenya newaakubadde nga yagunoonya n’amaziga mangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mumanyi nga era oluvannyuma bwe yayagala okusikira omukisa, tekyasoboka kubanga teyafuna bbanga lya kwenenyezaamu, newakubadde nga yagunoonya n'amaziga mangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanyi nti oluvannyuma, bwe yayagala okufuna omukisa, tegwamuweebwa, kubanga teyafuna ngeri ya kujjulula kye yali akoze, newaakubadde yagusaba ng'akaaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mumanyi nga era oluvannyuma bwe yayagala okusikira omukisa, n'agaanibwa (kubanga teyalaba bbanga lya kwenenyezaamu), newakubadde nga yagunoonya nnyo n'amaziga.