Hebrews 12:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bali tebaasobola kugumira ekyo kye baalagirwa nti: “Ne bwe kinaaba kisolo ne kikwata ku lusozi, kya kukubibwa mayinja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tebaayinza kugumira ekyo ekyalagirwa Katonda nti, “Ne bw’eba ensolo, bw’ekomanga ku lusozi ekubwanga amayinja n’efa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga tebaakiyinza ekyalagirwa nti, “Newakubadde n'ekisolo bwe kikoma ku lusozi, kirikubibwa amayinja,”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebaasobola kugumira kiragiro ekyabaweebwa, ekigamba nti: “Ne bw'eba nsolo n'etuuka ku lusozi, eteekwa okukubibwa amayinja efe!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga tebaakiyinza ekyalagirwa nti Newakubadde n'ekisolo bwe kikoma ku lusozi, kirikubibwa amayinja: