Hebrews 12:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe wamma ekyalabika kyali kitiisa, ne Musa n'agamba nti: “Ntidde, nkankana.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Musa n’atya nnyo olw’ekyo kye yalaba n’ayogera nti, “Ntidde nnyo era nkankana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ebyalabika byali byantiisa bwe biti Musa n'okugamba n'agamba nti, “Ntidde nnyo era nkankanye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala ebyalabibwa byali bya ntiisa nnyo, Musa n'atuuka n'okugamba nti: “Ntidde nnyo, ne nkankana!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebyalabika byali bya ntiisa bwe biti Musa n'okugamba n'agamba nti Ntidde nnyo era nkankanye: