Hebrews 12:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Luli eddoboozi lye lyayuuguumya ensi; naye kati asuubizza nti: “Era n'omulundi omulala sijja kuyuuguumya nsi yokka, naye n'eggulu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakankanya ensi n’eddoboozi lye kyokka n’asuubiza nti, “Omulundi omulala sirinyeenya nsi yokka, naye era n’eggulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyakankanya ensi n'eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng'ayogera nti, “Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n'eggulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddoboozi lye lyanyeenya ensi, naye kaakano yasuubiza nti: “Njija kuddamu okukankanya ensi, ku luno si nsi yokka, naye n'eggulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyakankanya ensi n'eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng'ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n'eggulu.