Hebrews 12:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulowooze ku oyo eyagumira obukyayi aboonoonyi bwe baamulaga, nammwe muleme kuggwamu maanyi mu mutima gwammwe na kuterebuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mumulowooze oyo eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez'abakola ebibi, mulemenga okukoowa, oba okuddirira mu mmeeme zammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulowoozenga ku kuwakanyizibwa okwenkana awo, aboonoonyi kwe baamuwakanyaamu, mulyoke mulemenga okukoowa n'okuterebuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mumulowooze oyo eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez'abakola ebibi ku bo bennyini, mulemenga okukoowa, nga muddirira mu mmeeme zammwe.