Hebrews 12:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwerabidde ebigambo ebyo ebigumya bye babagamba ng'abaana nti: “Mwana wange, togayanga ŋŋunjula ya Mukama; toggwangamu maanyi bw'akukomangako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti, “Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama, so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwerabidde ebigambo ebibabuulirirwa ng'abaana, “Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, So toddiriranga bw'akunenyanga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwerabidde ebigambo ebibabuulirirwa Katonda ng'ayogera nammwe ng'abaana? Agamba nti: “Mwana wange, togayanga kukangavvula kwa Mukama. Era toddiriranga bw'akunenyanga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mwerabidde ekigambo ekibuulirira, ekyogera nammwe ng'abaana nti Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, So toddiriranga bw'akunenyanga;