Hebrews 13:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ennyama y'ebisolo ereetebwa kabona omukulu mu Kitukuvu ng'ekitambiro olw'ekibi eyokerwa bweru wa lusiisira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona Asinga Obukulu yatwalanga omusaayi gw’ebisolo, olw’ebibi, mu kifo ekitukuvu era n’ennyama yaabyo n’eyokerwa ebweru w’olusiisira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebisolo biri, ebitwalibwamu omusaayi gwabyo kabona asinga obukulu mu kifo ekitukuvu olw'ekibi, emibiri gyabyo gyokerwa bweru wa lusiisira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ssaabakabona atwala omusaayi gw'ensolo mu Kifo Ekitukuvu, n'aguwaayo olw'ebibi, naye zo ne zookerwa ebweru w'olusiisira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebisolo biri, ebitwalibwamu omusaayi gwabyo kabona asinga obukulu mu kifo ekitukuvu olw'ekibi, emibiri gyabyo gyokerwa bweru wa lusiisira.