Hebrews 13:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwulirenga abakulembeze bammwe, mubagondere, anti bakola ogw'okukuuma emyoyo gyammwe ng'abantu abaliwoza omulimu gwabwe. Mubaleke omulimu bagukoze ssanyu, sso si nga batokooterera, kubanga ekyo mmwe tekyandibagasizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulirenga abakulembeze bammwe era mubagonderenga, kubanga obuweereza bwabwe kwe kulabirira emyoyo gyammwe, balyoke bakikole n’essanyu nga tebeemulugunya. Kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw'obulamu bwammwe, nga baliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n'essanyu nga tebeemulugunya, kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulirenga abakulembeze bammwe, era mubagonderenga, kubanga be balabirira emyoyo gyammwe, nga ba kugibuuzibwa. Mubasobozese okukikolanga n'essanyu, sso si na buwaze, kubanga ekyo tekiribaako kye kigasa mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw'obulamu bwammwe, ng'abaliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n'essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.