Hebrews 13:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abawe musobole okukola buli kirungi mutuukirize mutyo ky'ayagala; akole mu ffe buli ekimusanyusa mu maaso ge, ng'ayita mu Yezu Kristu; oyo aweebwe ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola by’ayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ng’ayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abatuukirize mu buli kigambo ekirungi okukolanga by'ayagala, ng'akolera mu ffe ekisiimibwa mu maaso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abawe buli kirungi kyonna, mulyoke mukolenga by'ayagala, Katonda oyo akolere mu ffe by'asiima, ng'abiyisa mu Yesu Kristo, asaanidde okuweebwa ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abatuukirize mu buli kigambo kirungi okukolanga by'ayagala, ng'akolera mu ffe ekisiimibwa mu maaso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.