Hebrews 13:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutegeere ng'owooluganda Timotewo yateebwa; bw'alyanguwa okujja, ndijja naye okubalaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbategeeza nti muganda waffe Timoseewo yateebwa, bw’alijja amangu, ndijja naye eyo okubalaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumanye nga ow'oluganda Timoseewo yateebwa; bw'alijja amangu, ndibalabira wamu naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbategeeza nti muganda waffe Timoteewo yateebwa. Era bw'alijja amangu, aliba wamu nange lwe ndibalaba mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumanye nga muganda waffe Timoseewo yateebwa; bw'alijja amangu, ndibalabira wamu naye.