Hebrews 13:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obufumbo bussibwemu ekitiibwa mu bonna, ekitanda ky'abafumbo kireme kujaajaamizibwa, anti Katonda aliramula abakaba n'abenzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obufumbo mubussangamu ekitiibwa n’ebirayiro byabwo, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obufumbo bussibwemu ekitiibwa abantu bonna, n'ekitanda kibeere kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okufumbiriganwa kussibwengamu abantu bonna ekitiibwa, era obufumbo bukuumibwenga nga butukuvu, kubanga abakaba n'abenzi, Katonda alibasalira omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n'ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango.