Hebrews 13:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujjukire abakulembeze bammwe abaababuulira ekigambo kya Katonda; mulabe ebyava mu ngeri gye baayisaamu, nammwe mugoberere okukkiriza kwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mujjukirenga abakulembeze bammwe abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe nga mugobereranga okukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mujjukirenga abakulembeze bammwe, abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe era mugobererenga okukkiriza kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujjukire abakulembeze bammwe, abaabategeeza ekigambo kya Katonda. Mwetegereze ebyo bye baayitamu mu bulamu bwabwe, mugoberere okukkiriza kwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mujjukirenga abo abaabafuga, abaababuulira ekigambo kya Katonda; era nga mutunuulira enkomerero y'empisa zaabwe, mugobererenga okukkiriza kwabwe.