Hebrews 13:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temuwubisibwa njigiriza ezitali zimu engwira. Kubanga kirungi omutima okufuna amaanyi nga gava mu neema, sso si mu mmere; abo abagoberera obulombolombo bw'emmere mpaawo kye baggyeemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temusendebwasendebwanga kuyigiriza okw’engeri ennyingi ezitamanyiddwa. Kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si mu byokulya ebitagasa abo ababirya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temutwalibwatwalibwanga kuyigiriza okw'engeri ennyingi okuggya, kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si kunywezebwa na mpisa ez'okulyanga, ezitagasa abo abazitambuliramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulemenga kuwubisibwa kuyigiriza okutali kumu, abantu kwe baleetereza. Kirungi okuba n'omutima ogunyweredde ku kisa kya Katonda, sso si ku bulombolombo bwa byakulya, obutagasa abo ababugoberera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temutwalibwatwalibwanga kuyigiriza okw'engeri ennyingi okuggya: kubanga kirungi omutima okunywezebwa n'ekisa; so si kunywezebwa na mpisa ez'okulyanga, ezitagasa abo abazitambuliramu.