Hebrews 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga kyali kisaana, olw'okutuusa abaana abangi mu kitiibwa, oyo byonna gwe bibeererawo ku lulwe era abeesaawo byonna, oli eyali ow'okubakulembera abatuuse ku kulokoka kwabwe, okumufuula omutuukirivu ng'ayita mu kubonaabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo kyasaanira nti ye, ku bubwe era mu ye ebintu byonna mwe bibeererawo, olw'okuleeta abaana abangi mu kitiibwa, asooke okutuukiriza obulokozi bwabwe ng'ayita mu kubonaabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda eyatonda ebintu byonna era abibeesaawo, yasiima okuleeta abaana be abangi mu kitiibwa. N'olwekyo yalaba nga kisaanye okutuukiriza omukulu w'obulokozi bwabwe, ng'ayita mu kubonaabona,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kyamusaanira oyo ebintu byonna bwe biri ku bubwe era eyabikozesa byonna, ng'aleeta abaana abangi mu kitiibwa, okutuukiriza omukulu w'obulokozi bwabwe olw'ebibonoobono.