Hebrews 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era nti: “Mu ye mwe ndissa obwesige bwange.” Era nti: “Nzuuno, nze n'abaana abange Katonda be yampa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era awalala agamba nti, “Nze nnaamwesiganga oyo.” Ate ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba nze n’abaana Katonda be yampa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era awalala agamba nti, “Nze nnaamwesiganga oyo.” Era ne yeyongera n'agamba nti, “Laba nze n'abaana Katonda be yampa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era agamba nti: “Nja kwesiganga Katonda.” Era yeeyongera n'agamba nti: “Ndi wano n'abaana, Katonda be yampa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate nti Nze nnaamwesiganga oyo. Era nate nti Laba nze n'abaana Katonda be yampa.