Hebrews 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga abaana abo baali ba luse lumu, omubiri n'omusaayi, naye lwe luse lumu olwo kwe yagabana, alyoke azikirize oyo eyalina obuyinza obw'okufa, anti ye Sitaani,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okubanga abaana balina omubiri n'omusaayi, naye yalina omubiri n'omusaayi, nga ayita mu kufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale abo Yesu b'ayita abaana nga bwe bali abantu, naye yennyini yafuuka omuntu nga bo. Yakola bw'atyo, alyoke asobole okufa, era mu kufa kwe, azikirize Sitaani alina obuyinza ku kufa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n'omubiri, era naye yennyini bw'atyo yagatta ebyo; olw'okufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani;