Hebrews 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
leero ffe tunaawonera wa bwe twekolera ne tugayaalirira ekigambo eky'okulokoka ekikulu kityo? Kwasooka kulangirirwa Mukama, ne kututegeezebwa bali abaamuwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ffe tuliwona tutya bwe tulagajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale ffe tuliwona tutya ekibonerezo, bwe tuligayaalirira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obwo Mukama yennyini ye yasooka okubutegeeza abantu, era abo abaabuwulira, ne batukakasa nga bwe buli obw'amazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ffe tuliwona tutya bwe tulireka obulokozi obukulu obwenkana awo? obwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira;