Hebrews 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Katonda yakakasa bye boogedde ng'akola obubonero, ebyewuunyo n'ebyamagero ebitali bimu, n'ebitone bya Mwoyo Mutuukirivu bye yagabanga nga bwe yayagalanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda yakikakasiza mu bubonero ne mu by’ekitalo ne mu byamagero abitali bimu, era ne mu birabo ebya Mwoyo Mutukuvu bye yagaba nga bwe yayagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era Katonda n'akakasiza ddala bye baayogeranga mu bubonero ne mu by'ekitalo ne mu by'amagero ebitali bimu era ne mu birabo eby'Omwoyo Omutukuvu, bye yagaba nga bwe yayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Katonda yennyini n'akakasa ebigambo byabwe, ng'akola ebyewuunyo n'ebyamagero era n'eby'amaanyi ebitali bimu, era ng'agaba n'ebirabo bya Mwoyo Mutuukirivu nga bwe yayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Katonda ng'ategeereza wamu nabo mu bubonero ne mu by'amagero era ne mu by'amaanyi ebitali bimu era ne mu birabo eby'Omwoyo Omutukuvu, nga bwe yayagalanga Yekka.