Hebrews 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi erijja gye twogerako bamalayika Katonda si be yagikwasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bamalayika si be bagenda okufuga ensi egenda okubaawo, gye twogerako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda teyawa bamalayika kufuga nsi gye twogerako, egenda okubaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bamalayika si be yafuza ensi egenda okubaawo, gye twogerako.