Hebrews 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waliwo awajulizibwa, omu ng'agamba nti: “Omuntu ye ani gw'ojjukira, oba omwana w'Omuntu ye ani gw'ossaako omwoyo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti, “Omuntu kye ki ggwe okumujjukira? Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo ekifo mu byawandiikibwa omu we yategeereza, ng'ayogera nti, “Omuntu kye ki, ggwe okumujjukira? Oba omwana w'omuntu, ye ani ggwe okumujjira?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omu, waliwo w'akakasiza mu byawandiikibwa, ng'agamba nti: “Omuntu ataliiko bw'ali, lwaki omulowoozaako? Era omuntu obuntu, lwaki omulumirwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye waliwo ekifo omu we yategeereza, ng'ayogera nti Omuntu kiki, ggwe okumujjukira? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira?